EKIKANGABWA E KASOZI -KIGANDA : Omuvubuka yeesudde mu mazzi n'afa
Abatuuze b’okukyalo Nakasozi ekisangibwa mu gombolola y’e Kiganda mu disitulikiti ye Kassanda baguddemu esisi oluvannyuma olw’okusanga omulambo gw’omuvubuka nga gutengejjera ku mazzi g’e kidiba.
Kigambibwa nti omuvubuka ono Robert Anguyo ow’emyaka 30 yandiba nga yeeyesudde mu kidiba kino.
Kigambibwa nti ono abadde atera okufuna ekirwadde ky’omutwe nga bateebereza okuba nti kyekyamuviirideko okwejja mu bulamu bwe nsi - yo poliisi egamba etandise okunoonyereza.