EBYA SSEGIRINYA NE SSEWANYANA BYONGEDDE OKUKALUBA : Kkooti egobye okusaba kwabwe
Kooti ejulirirwamu wano mu kampala yeeremye okukkiriza ababaka okuli Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana okweyimirirwa, oluvanyuma lw’okwekubira enduulu gyeri.
Abalamuzi basatu ababade mu musango guno bagamba nti kooti ye masaka enkulu eyabamma okweyimirirwa yegwana okumaliriza ensonga zino, kuba buno si buyinza bwa kooti ejulirirwamu.
Bannamateeka ba babaka bano bagamba nti okusalawo kwa kooti eno kubatabudde nga kati basazeewo kudukira mu kooti etaputa ssemateeka.