E Masaka waliwo omwana eyabulira ku ssomero kati sabbiti ziweze 2
Waliwo abazadde bali mu kusattira olw’omwana wabwe okubula ku ssomero gyeyali asomera erya Blessed Sacrament Kimaanya -Masaka. Samuel Tendo Bwanika ow’emyaka 14,asoma siniya esooka y’anonyeebwa nga kigambibwa nti yabula kati sabbiiti bbiri emabega. Kyoka abazedde bagamba nti essomero teribayambye kimala mu lutalo lw’okunoonya omwana waabwe.