E Bukulula -Kalungu abatuuze battunka n'abamakomera ku ttaka
Abatuuze mu gombolola ye Bukulula mu disitulikiti y’e Kalungu, bali ku bunkenke olwabatwala ekkomera ly’e Bukulula, okutandika okubagobaganya ku ttaka kwebali mbu lya kkomera. Ettaka ery’ogerwako lya bwakabaka, era abatuuze bagamba nti balinako obusenze okuva mu Buganda Land bord, nga tebalaba nsonga lwaki ab’ekkomera babayingirira.
Kati baagala ekitongole ki Buganda land bord okuyingira mu nsonga yaabwe.