Dr. Tanga Odoi yalangiridde Uthman Mugisha Mubarak ng’omuwanguzi mukulonda kwa kamyufu kaabwe
Ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina ki NRM Dr. Tanga Odoi yalangiridde Uthman Mugisha Mubarak ng’omuwanguzi mukulonda kwa kamyufu kaabwe akaakubiddwa olunaku lw’eggulo.
Kati ono yagenda okukwatira NRM bendera mu kulonda kwa Donna okugenda okubeerawo omwezi ogujja okujjuza ekifo kya ssentebe wa disitulikiti eno.
Mugisha yabadde avuganya n’abantu abalala mukaaga era yabawangulidde ku bululu 11,318.