Banakyewa bagala emirimu abakyala gyebakola awaka gyiteekebwe mu teeka
Ebibiina by’abakyala bannakyewa baagala palamenti eyise eteeka erigenda okukaka gavumenti okugonza embeera abakyala b’awaka mwe bawangalira,kibayambe okwetaba mu mirimu egivaamu ensimbi. Abakyala bano abeegatira mu mukago gwa Uganda Womens Network bagamba nti abakyala emirimu gye bakola awaka tegyitwalibwa nga ekikulu,kyoka nga gyibatangira okukola ebivaamu ensimbi. Kati baagala gavumenti ewe abakyala ebyobulamu ebirungi, amazzi agabali okumpi, kko n’ebirara banguyirwe okwetaba mu mirumu egizza envuma.