Bana nakwatiddwa e Nsumbi - Nansana ku by’okwonoona obutonde bw’ensi
Ekitongole ekirwanirira obutonde bw’ensi ki NEMA kiriko abantu 4 bekikute ku by’okwonoona obutonde bw’ensi. Bano baalabikira mu katambi nga bayiwa kasasiro mu mwala enkuba nga ettonya mu bitundu bye Nansana.
Abakwate kuliko Miriam Ndagire myaka 36, Moreen Nakabuvu myaka 28 kwosa abaana 2 nga bonna batuuze b’e Nsumbi mu muluka gw’e Kyebando e Nansana.
Okusinzziira ku mwogezi wa NEMA Neome Namara, bano bakusimbibwa ku mbuga z’amateeka babitebye.