Ba muzibe ku ssomero Bukomansimbi basobeddwa olw’ekizibu ky’amazzi
Abayizi ba muzibe ku ssomero lya Misanvu Special Needs Education Unit mu gombolola y’e Kibinge mu disitulikiti ye Bukomansimbi basobeddwa olw’ekizibu ky’amazzi.
Abayizi bano batindigga olugendo okunoonya amazzi nebafundikira nga abamu bafunidde y’obuzibu - Kati basaba abakulembeze baabwe babadduukirire.