Akulira Buwenge Health Centre IV akwatiddwa, asabye abalwadde ssente
RDC w’e Jinja Wilson Mwanje alagidde akulira eddwaliro lya Buwenge health center IV e Jinja akwatibwa oluvanyuma lw’okukkiriza omusawo atakolera ku ddwaliro lino okujja n’atandika okujjanjaba abantu.
Kino kidiridde abaana okutwalibwayo nga balumiddwa embwa kyoka omusawo asangiddwayo n’abasaba emitwalo 2 n’ekitundu buli omu kati mu kwekubira enduulu kwekukizuula nti omusawo ono abadde takolera ku ddwaliro lino.