AKATUUBAGO MU DDWALIRO E LYANTONDE :Abalwadde bakonkomalidde ku bitanda, abasawo beedima
Kku ddwaliro e kkulu e Lyantonde, abalwadde naddala abali ku bitanda bali mu kusoberwa oluvannyuma lw’abasawo okubasuulawo olw’akediimo akagenda mu maaso. Bagamba nti okuva akediimo lwekaatandika tebafuna nga bujjanjabi, nga n’ebifo ebisinga ku ddwaliro byonna biggale.