AKABENJE KA BAASI YA LINK: Abaafudde baweeze 21, abaasimattuse balulojja
Abantu abafiiridde mu kabenje ka Baasi e Fortportal webwakeeredde nga baweze 21, tutuseeko ku ddwaliro abaasobodde okuwana gyebajjanjabibwa nebatubuulira obuzibu kwebwavudde. Abamu ku bafiiridde mu kabenje kano kwabaddeko n’omusawo eyabadde agenda okutikkirwa diguli ye ey’okubiri. Minisita omubeezi ow’ebigwa tebiraze Musa Ecweru naye atuseeko mu kifo awagudde akabenje.