Abogobereze b'eby'obufuzi balabudde ebibiina ku okusikiza bannabyafuzi
Tuzze tulaba bannabyabufuzi abafa, kyoka ebibiina mwebava ne bibasikizza ab’oluganda oba abaana baabwe okudda mu bifo mwebabade.
Eya kasembayo ye Robinah Ssentongo abadde omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kyotera –nga ono bweyafudde DP n’erangira nga muwala we Rose Fortunate Nantongo bwagenda okumuddira mu bigere ku ticket ya DP.
Twogegeddeko n’abagoberera eby’obufuzi nga twagala okumanya oba kino tekiijungulule enfuga eya democraciya.