OKUTUMBULA EBITONE: Minisita Muyingo aliko byasabye amasomero n’abazadde
Minisita w'eby'enjigiriza ebisookerwaako John Chrysestom Muyingo akalatide abazadde obutakotogera bitone by'abaana baabwe nga bakyali bato kyagambabye nti kyakubayambako okweyimirizaawo nga bakuze. Okusizniira ku Muyingo, buvunanyizibwa bw'abazadde okuzuula ebitone byabaana babwe kwosa okubakwasizaako okubitumbula kyagamba nti kyakubayambako okuyitimuka. Okwogera bino minisita Muyingo abade ku somero li Rainbow corner nursery and primary e Bunamwaya mu disitulikiti y'e Wakiso.