Abavubi e Busia basobeddwa nga babbiddwako amaato ku mwalo gw'e maduwa
Abavubi ku mwalo gw’e Maduwa e Busia bekubidde enduulu eri ab’obuyinza oluvanyuma lwa bannakenya okubba emaato gabwe gonna Kigambibwa nti bano babalanga kubakwata nebabawayo eri ab’obuyinza okwenyigira mu nvuba emenya amateeka. Kati bano basaba kuyambibwa kuba mu kiseera kino tebakyakola nga kati tebalina kyakulya.