Abatuuze be Iganga balumbye abakulu ku ggombolola lwa masannyalaze
Abatuuze ku kyalo Bukyaye e Nakalama mu disitulikiti y’e Iganga balumbye wofiisi z’egombolola nga bagala abakulu babanyonnyole lwaki mukusaasanya amasannyalaze mu kitundu kyabwe kwetobeseemu obulyake.
Bano bagamba gav’t yasawo enteekateeka ya rural Electrification okusobola okusaasanya amasannyalaze mu byalo kyoka abakwasibwa eddimu lino bagenda balondamu ababawa ssente bebagawa ate nga galina kuba gabwereere.