Abatuuze b'e Hoima batabukidde poliisi, bagirumiriza okubaliisa akakanja n'okubajjako ssente
Abatuuze mu tawuni y’e Bulindi mu district ye Hoima batabukidde aduumira poliisi mu kitundu kyabwe nga bamulanga kubatulugunya, kko n’okubajjako ensimbi naddala mu budde obw’ekiro.
Abaserikale bano baali baleetebwa kukuuma batuuze olw’obumenyi bw’amateeka obwali buyitiridde mu kitundu kino, kyoka wakati mu kukwasisa amateeka ate nebatandika okuliisa abantu akakanja.
Aduumira poliisi e Hoima Ruth Nkamusiima yeetondedde abatuuze n’asuubiza okukangavvula abasongedwamu olunwe.