Abatawulira baagala abatafuta bateekebwe mu wofiisi za Gav't
Ebitongole by’obwannakyewa ebyenjawulo ebirwanirira eddembe ly’abantu abaliko obulemu byagala gavumenti esse abataputa mu bitongole byayo ebyenjawulo okusobozesa abantu abatawulira oba bakiggala nabo okufuna obuweereza bwebeetaaga.
Bano bagamba bangi balekebwa ebbali mu nteekateeka za gav’t ez’enjawulo olw’obutawuliziganya.
Bano balowooza nti okusomesa abantu olulimi luno lyelimu ku makubo agalina okuyitwamu okumalawo okusoomooza bano kwebasanga.