Abasawo balabuddwa okwewala okugabira abantu edagala nga tebamanze kuzuula bulwadde bubaluma
Abasawo mu disitukikiti ye Nakasongola balabuddwa okwewala okugabira abantu edagala nga tebamanze kuzuula bulwadde bubaluma. Kino kiddirdde abakugu okukizuula nti endwadde ezisinze okwesiba ku bantu mu kitundu kino, ziva ku nkozesa ya ddagala enkyamu, ekiviirako emibiri okutandika okujeemera eddagala. Okwogera bino abakugu muby'obulamu babadde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw'okubunyisa enjiri y'okulwanyisa enkozesa y'eddagala embi mu ggwanga ogubadde e Nakasingola.