Abantu bataano bafiiridde mu muliro e Bukasa
Abantu bataano basirikidde mu muliro ogukutte enyumba yaabwe mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero. Entiisa eno abadde ku kyalo Yoka, mu muluka gw’e Bukasa mu Division y’e Makindye. Abafudde kuliko ssemaka,omukyala ko n’abaana baabwe basatu.