Abali mugw'okubala abantu bakyemulugunya: Nansana abamu bakyabanja ensako yaabwe
Ate wano e Nansana abamu ku bavubuka abaweebwa omulimu gw'okubala abantu banyikaavu olw’ekitongole ky’emiwendo ki UBOS okulemererwa okubawa ssente ze baali basuubizibwa mu nnaku ze baamala nga bakyatendekebwa.
Batubuulidde nti basuubizibwa okuweebwa emitwalo ebiri buli olunaku okumala e banga lya nnaku mwenda kyokka bewunyizza okuwulira ng’ekitongole kino kitegeeza nga bwezabaweebwa kyokka nga tebazifunanga.
Akulira ekitongole ki UBOS ekyabawa emirimu atubuulidde nti ensonga zaabwe azimanyi, naye nga wakuzoogerako ku lwakutaano lwa wiiki eno nga okubala abantu kuwedde.