Abalamuzi basisinkanye abatuuze e Mpigi okubalambika ku mateeka agafuga ettaka n’ebibanja
Abakulembeze ba disitulikiti y’e Mpigi basitudde abalamuzi okusisinkana abatuuze okubalambika ku mateeka agafuga ettaka n’ebibanja n’emitendera egyiyitwamu omuntu okufuna ekyapa. Akulira kkooti y’e Mpigi Jane Francis Nanvuma n’omulamuzi wa kkooti y’e Buwama Valerian Tuhimbise bebabaddewo okulambika abatuuze.