Abalamazi okuva e buva njuba ne Kenya batandise okusembera
Enkya ya leero kibinja ky’abalamazi 36 okuva mu ggwanga lya Kenya batuusee Busia, nga betegekera okulamaga e Namugongo. Tukitegedde nti kumulundi guno bazze ba lubatu, nga nsonga zekuusa ku byanfuna ebyakaluba. Mungeri y’emu n’ekibinja ekirala eky’abalamazi okuva mu disitukikiti y’e Mbarara ne Kazo okuli abakadde n’abato wakati w’emyaka 70 ne 13 bamazze okutuuka e Masaka.