Abakulira ekibiina ki NUP bali mu ntekateeka za kuwawaabira baserikale
Abakulira ekibiina ki National Unity Platform batubuulidde nti bali mu ntekateeka za kuwawaabira baserikale abeetabye mu kutuusa obuvunne ku Robert Kyagulanyi ssentamu n’abamu ku bawagizibe bweyabadde ava e bulindo - kira ku lwokubiri lwa saabiiti eno. Ssabawandiisi w’ekibiina kino Lewis Lubongoya agamba nti mu kaseera kano bali mu kwetegereza butambi obwakwatiddwa bamanye we batandikira. Atubuulidde nti Kyagulanyi atandise okukuba ku matu , newankubadde nga abasawo baamuwabudde okugira nga awummulako.