Ababaka batadde abakulu okuva mu KCCA ku nninga
Ababaka batadde abakulu okuva mu KCCA ku nninga, okuvaayo okunyonnyola ku bantu abateeberezebwa okuba nga tebamanyiddwako mayitire mu njega eyaliwo kasasiro bwe yayigulukuka n’atta abantu abasuka mu makumi asatu e Kiteezi. Bino bibadde mu kakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gy’ebitondole bya gav’t eby’enjawulo ka COSASE.