Ababaka ba Palamenti abava mu bizinga, batadde minisitwa w’eby’obuvubi Hellen Adowa ku nninga
Ababaka ba Palamenti abava mu bizinga, batadde minisitwa w’eby’obuvubi Hellen Adowa ku nninga, aveeyo ayanjulire Palamenti amateeka n’obukwakkulizo abavubi byebalina okugoberera nga bakola omulimu gwabwe . Okusinziira ku babaka amagye, basusse okuyisa ebiragiro eby’enjawulo ebitandise n’okwawula mu bavubi buli omu nga yebuuza ekituufu kyalina okukola. Kati bagamba nti singa kino kigaana, bbo beetegefu okwebagira ebiragiro byabwe babiwe Plamenti okusobola okulongoosa omulimu gw’obuvubi.