20 BASIMATUSSE : Ekizimbe kigudde e Kireku-Bweyogerere
Abantu 20 bebasimattuse okufiira mu kizimbe e Kireku - Bweyogerere mu munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso oluvanyuma lw’ekizimbe ekibadde kiri mu kuzimbibwa okugwa. Bano ekibataasiza kwekulabuukirira ekizimbe kino nebakiddukamu. Abatuuze bagamba nti obuzibu buvudde kumisinde ekizimbe kino gyekibadde kiddukirako.