Omukama Oyo Nyimba awadde gavumenti ettaka okuzimbako ekisaawe ky'omupiira
Omukama Oyo Nyimba awaddeyo ettaka eri gavumenti eriweza obugazi bwa yiika 100 okuzimbako ekisaawe ky'omupiira gagadde okusobola okutumbula eby'emizannyo mu kitundu kino. Bino abittise Omuhikirwa Wa Tooro Armstrong Calvin Rwomiire bwabadde atongoza emipiira gy'amasaza ga Tooro ag'omulindi ogw'okuna e Mucwa. Emipiira Gino by'ebimu ku bikujjuko ebikulemberamu okujaguza amatikkira ga Omukama Oyo aga 30 aganaabaawo nga 12 September 2025.