Nnaabagereka asabye ebitongole bya gavumenti okukwasizaako abakyala mungeri ez'enjawulo
Nnaabagereka Sylvia Nagginda awanjagidde ebitongole bya gavumenti eby'enjawulo ebiri mu kutuumbuula enkulakulana y'abantu, kwossa ebiwola ensimbi okukwasizaako abakyala mungeri ez'enjawulo okulaba nga bongera okukulakulana. Bino okubyogera asinzidde mu Ttabamiruka W'abakyala mu Buganda ow'omulundi ogw'omwenda ng'ono abadde mu Lubiri e Mengo.