Zungululu:Wiiki eno, buli omu abadde anyumya ku kivvulu ky'omuyimbi Gravity Omutujju
Wiiki eno, buli omu abadde anyumya ku kivvulu ky'omuyimbi Gravity Omutujju ekyamusaze nekidda ne mu kati. Gravity ono yewaana nnyo nga bw'agenda okukuba Lugogo agyabye, wabula gye byaggwera nga ayimbidde bazimbi ba weema ne ba DJ. Waliwo abamuwadde amagezi obuteetuga wabula abanoonyeko bamuwabule ku ky'okukola.