Woofiisi ya RDC w’e Ssembabule efuuse kiddukiro kya banna NRM abagendayo okwemulugunya
Woofiisi ya RDC w'e Ssembabule efuuse kiddukiro kya bannakibiina ki NRM abagendayo okwemulugunya ku mivuyo egyetobese mu kamyufu k'ekibiina ku byalo ebyenjawulo. Olunaku lw'eggulo Amagye ne Poliisi byayitiddwa okugumbulula bannakibiina okuva mu ssaza lye Mawogola West ne South abaabadde beesomye okugumba ku woofiisi eno okutuusa ng'esonga zaabwe zikoleddwako. Bangi ku bano baabadde beemulugunya nga ebyava mu kulonda ku byalo byabwe bwe byakwatiddwamu.