Weeraba Rajiv Ruparelia, bangi beetabye ku mukolo gw’okwokya omubiri gwe e Lugogo
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni , yegasse ku bakungubazi abalala natenderera emirimu nenkulaakulana Rajiv Ruperlia , mutabani wo mugagga Sudhir Ruparelia gyalesse akoledde e ggwanga Uganda. Mububaka bwe obusomeddwa sipiika wa palamenti Anitah Among, Museveni era atendereza omutima gwa Rajiv ogw'ekisa ogulumirirwa abantu abateesobola. Ono atodde obukadde 50 eri aboluganda lw'omugenziOlwaleero Rajiv Ruperlia lwayokeddwa munzikiriza ya bayiidi mu kibangirizi kya Hundi Crematorium ground , e Lugogo. Rajiv yafa ku lwamukaaga oluwedde mukabenje ddeka busa e busabala ku entebbe express high way.