Waliwo owa boda boda eyatwaliddwa amazzi eggulo
Walwio abavuzi ba boda boda mu Kampala abakedde ku muyiggo gw'omulambo gwa munnaabwe eyatwaliddwa mukoka wakati mu nkuba eyatonnye olunaku lw'eggulo Kigambibwa nti Julius Baguma abadde akola ku stage ya IUIU e Kibuli amazzi gamusinzizza amaanyi negamukuluggusa ne pikipiki ye bweyabadde agezaako okugayitamu okumpi n'ekitbe ky'ekitongole ekinoonyereza ku misango mu Poliisi.