Waliwo omwana attiddwa mu bukambwe
Omwana ow'emyaka omusanvu eyabula ku lwokuna lwa wiiki ewedde asangiddwa nga yattiddwa mu bukambwe . Bazadde be ku kyalo Namarere e Kagoma mu kiseera kino bali mu kwemagazza . Omwana ono yasembayo okulabikako nga waliwo omuntu eyefuula nti amusaza ekkubo era nga teyaddamu kulabikako. Omulambo gusangiddwa nga guliko wegwasuuliddwa, naye nga obubonero obuguliko bulaga nti yasaddaakiddwa.