Waliwo akatabo akatongozeddwa okulungamya abasomesa abaana abaliko obulemu
Waliwo akatabo akatongozeddwa okulungamya abasomesa engeri gye balina okusomesaamu abantu abaliko obulemu mu ggwanga. Akatabo kano kateekeddwateekeddwa ab’ekibiina ekigatta abaliko obulemu mu ggwanga ki National Union of Disabled Persons in Uganda nga bali wamu ne Minisitule y’ebyenjigiriza. Mu katabo kano mulimu n’ebyokuyigiriza abasomesa obubonero.