MWENYIGIRE MU BY'OBUFUZI : Katikkiro awadde abawala amagezi
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akalaatide abavubuka ab’obuwala mu Buganda okwettanira eby’obufuzi kyagambye nti kyakubasobozesa okutuusa eddoboozi ku bibanyigiriza. Okusinziira ku Katikkiro, abawala abasinga beebalama eby’obukulembeze ebifo eby’obuvunaanyizibwa nebabirekera abasajja. Bino Katikkiro abyogedde bwabade asisinkanye abavubuka okuva mu masaza ga Buganda.