Waliwo abakubye ebituli mu mitendera gy’okuyisa etteeka lya kkooti z’amagye
Bannamateeka bagamba ebbago lyenongosereza mu tteeka lya UPDF Act lyakuwakanyizibwa mu kkooti olwokukotana n’ensalawo ya kkooti eyagaana okuddamu okuwozesa abantu babulijjo mu kkooti z'amaggye.Ebbago lino enkya lwe lusuubirwa okomezebwawo mu palamenti okusomebwa emirunde ebiri egisigaddeyo olwo liyisibwe.Bannamateeka betwogeddeko nabo bennyamivu nti lino liweereddwa obudde butono ddala okwetegerezebwa nga banti ku bakwatibwako ensonga tebeebuziddwa nako.