Eyali omujaasi wa Joan Kagezi asibiddwa emyaka 35 lwa kutemula
Omu ku basibe abana ababade bawerennemba n’omusango gw’okutta eyali amyuka ssabawaabi wa gavumenti Joan Kagezi kyadaaki akkirizza nga bweyazza musango guno bwatyo nakaligibwa emyaka 35 nga ali mabegta wa mitayimbwa.Kisekka Daniel kisekka y’akkiriza omusango guno mu maaso g’abalamuzi banna nga bakulembeddwamu omulamuzi Micheal Elubu.Kati ono y’agenda okukola ng’omujjulizi ku banne abasatu abakyali ku alimanda ku musango guno , ogugenda okutandika okuwulirwa enkya.