Enkola ya PDM e Luweero, waliwo abagamba nti edibagiddwa
Ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ateekateeka okukyala mu bendobendo lya Luwero okulambula enteekateeka ya government ey’okulakulanya emiruka eya Parish Development model oba PDM, waliwo ebemulugunyizza ng’enteekateeka eno bwedibagiddwa mu Luweero. Bano balumuirizza abamu ku bagiddukanya okukekejjula ku sente abantu z’ebalina okufuna nga mu kifo ky’akakadde abamu bafuna z’abitundu, ate abandi sente bazigabira bang’anda na mikwano. Herbert Kamoga yalina ebikira ku bino.