Ababaka ba NRM basisinkanye Museveni ku tteeka ly’amagye
Ababaka abava mu kibiina ki N.R.M leero basiibye mu kafubo mu maka g'obwa pulezidenti e Ntebe, okwegeyaamu ne ssentebe we kibiina kyabwe ku nsonga enkulu ezikosa eggwanga.Bano bagenze okugenda e Ntebe ng’olunaku olw’enkya palamenti eteekateeka kukubaganya birozowozo ku nongosereza ezaleetebwa mu bbago lye teeka li UPDF ACT 2005, ekireseewo endowoza nti bano bagenze kukaanya ku ngeri gyebagenda okusalawo nga ekibiina.Kyoka Nampala wa gavumenti Hamson Obua, agambye nti mpaawo kyebagenda kugatta ku nsonga za bbago lino, kubanga okusalawo baakukola dda , era bonna nga ekibiina baakuwagira enongosereza zino.