Ekibiina ki People’s Front for Freedom kyakutandika okuwandiisa ba memba mu ggwanga
Ekibiina ky'obyobufuzi People’s Front for Freedom batubuulidde nti bali mu ntekateeka za kutandika kuwandiisa bannakibiina mu ggwanga lyonna abaagala okuvuganya ku bifo eby’enjawulo ,kasita baweebwa ebbaluwa ebakakasa ng’ekibiina ekitongole. Omwogezi w’ekisinde kino Ibrahim Ssemujju Nganda atugamgye nti okwanguya entekateekaeno,bakweyambisa mutimbagano.Kyoka bano bennayamivu olwengeri eyekigayaavu akakiiko ke byokulonda gyekakuttemu entekateeka z’okubatongoza.