Waliwo abaazirwanako abeesunze Museveni okumuloopera ebizibu byabwe
Abamu ku baazirwanako abeetaba mu lutalo olwaleeta gavumenti ya NRA mu buyinza mu bitundu bya Rwenzori beesunga obugenyi bwa Museveni mu bitundu bya Rwenzori nga balowooza nti bandifuna omukisa okumusisinkana bamubuulire ebizibu byabwe. Bano bagamba baludde nga beekubira enduulu mu woofiisi ezenjawulo okulaba nga baliyirirwa wabula nga buteerere.