VOLLEYBALL: Ttiimu ez’enjawulo ziri mu kuttunka
Empaka za Kampala Amateur Volleyball Club ziyingidde olunaku olwokubiri mu nzannya za Semi ne quarter e Lugogo. Empaka z’omwaka guno zetabiddwamu kkiraabu z’abasajja n’abakyaala okuva e Rwanda, Burundi ne South Sudan. Okwawukanako ne bulijjo, kkiraabu okuva e Kenya tezeetabye mu mpaka z’omwaka guno.