UNRA egamba ekyatubidde mu bbanja lya buwuumbi 528
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuzimba enguudo ki UNRA kitubidde mu mabanja ga buwuumbi 528 nga bagamba kino kyakukosa emirimu gyabwe mu mwaka gw'ebyensimbi guno. Ekizibu kye basinze okusanga bagamba kiri mu kunoonya nsimbi ezigula ettaka mu bitundu omunaayita enguudo ez'enjawulo nga zibadde zakunoonyeza mu kiwato. Wabula UNRA egamba nti oluguudo lwa Ntebe Express Way lwongedde ate okuvaamu ensimbi ekiraga nti ebbanja eryewolebwa okuluzimba ssente zaaly zaandiggwayo mu bbanga ttono n'okusinga eryo lyebaali basuubira.