Uganda ne Rwanda zikiriziganya okuggulawo ebifo ebirala ku nsalo kutumbula ebyobusuubuzi
Gavumenti ya Uganda ne Rwanda zikiriziganya okwongera okuggulawo ebifo ebirala ku nsalo okusobozesa abantu b’amawanga gombi okusala ensalo nekigendererwa eky’okutumbula ebyobusuubuzi. Abakulu mu mawanga gombi basisinkanye olwaleero mu kibuga Mbarara okwogera ku nsonga ezitali zimu. Omwaka oguwedde Rwanda yaggulawo ensalo yaayo ne Uganda, oluvanyuma lw'emyaka ebiri m’ekitundu nga eggaddwa.Kino kyatunuulirwa nga akabonero akokumalwo obukubuubagano obwaliwo n’okusobozesa bannansi mu mawanga gombi okuddamu okwenyigira mu by’obusuubuzi. Mu nsisinkano ebaddewo olwaleero wakati w’abakulu okuva mu mawanga gombi, omuteesiteesi omukulu owa Minisitule z’ensonga ez’omunda. Lt Gen Joseph Musanyufu ategeezezza nga amawanga gombi bwegakkiriziganyiza okuteekawo ebifo ebirala ku nsalo okusobozesa bannansi b'amawanga gombi okuyitawo, nekigenderwa eky’okutumbulaeby’obusuubizi.Uganda ne Rwanda zirina ebifo ebyensalo omuli Katuna e Kabale, Kyanika e Kisoro, Mirama Hills e Ntungamo saako ne Kizinga e Ntungamo.LT Gen Musanyufu agamba nti okuva Uganda ne Rwanda lwebakiriziganya ku ky’okuggulawo ensalo waliwo ebituukiddwawo bingi. Omubaka wa Rwanda mu Uganda Joseph Rutabana agamba nti okwongera ku bifo awasalirwa okubeera nga byesudde kyekiviirako abantu okusaliikiriza.