TTIIMU YA UGANDA EY’OKUBAKA: Ezzeemu okutendekebwa nate
Ttiimu y'eggwanga ey’okubaka the She Cranes etandise okutendekebwa olunaku olwaleero nga beetegekera empaka za Netball Test Series ezinabeera e Bungereza mu January w'omwaka ogujja. Bano baakoma okukiikirira eggwanga mu August W’omwaka guno bwe beetaba mu mpaka z'ekikopo ky'ensi yonna ezaali e South Africa.