TTABAMIRUKA WA NUP: Demokulasiya w’ekibiina akubiddwamu ebituli
Ekibiina ki NUP kinnyonyodde ensonga lwaki kyasalawo obutakkiriza bannamawulire mu tabamiriku w’ekibiina kwossa eky’okubeera nti ssibaakukuba kamyufu nga kironda abo abanaakikwatira bandera mu kalulu ka 2026. Bbo abatuunulizi b’ebyobufuzi betwogeddeko nabo bagamba engeri ebyobufuzi gyebizanyibwamu wano mu ggwanga mpaawo kibiina kiyinza kutuukiriza nkola ya dimokulasiya nga n’olwekyo NUP tesanye kuteekebwa nnyo ku ninga mu kaseera kano.