TEBAAFUNYE MIDAALA: E Busia waliwo abasuubuzi abakukkuluma
Abasuubuzi abaali bakolera mukatale k’e Busia nga tekanaba kuzimbibwa bangi besanze nga bafise emidaala mukatale akapya era nga bagamba nti abakoze omulimu guno babadde n’ekyekubiira olwenguzi eyeetobese mu nteekateeka y'okugaba emidaala. Bano kati baagala gavumenti eyingire mu nsonga zaabwe kubanga tebamanyi kyebagenda kuzaako. Tawuni Clerk wa Busia Vincent Okurut agamba nti emidaala gyagabiddwa mu bulambulukufu yadde nga agenda kwongera okunoonyereza azuule ebisingawo.