Ssentebe w’e Hoima n’omukuumi we bafiiridde mu akabenje k’e Bukomero
Mu mawulire agennaku, Ssentebe wa disitulikiti ye Hoima Kadhir Karungi afiiridde mu Kabenje akaguddewo ekiro ekikeesezza leero mmotoka mwabadde atambulira bwetomereganye ne Loole ekika kya Fuso. Kigambibwa nti omugoba wa FUSO abadde alina ekinnya kyaagezaako okwewala kwekuyingirira emmotoka ya ssentebe. Karungi yatambudde kiro ngaliko emirimu gyeyeyuna okukola mu Kampala.