SSENTE Z’OMUKAGO EZAAWAMU: Enteekateeka eyolekedde okwongezebwayo
Enteekateeka z’omukago gwa East Africa okutekawo sente ezawamu zandyongezebwayo. NTV ekitegedeko nti abakugu mu byensimbi babaze ekiwandiiko ekyongezayo entekateeka zino okutuuka mu mwaka gwa 2031. Ssabawandiisi w’omukago gwa East African Dr Peter Mathuki akakasiza nti ekiteeso ku nsonga eno kyasindikidwa mu lukiiiko lwabaminisita ba East Africa okwongera okukyekaanya.