Ssekikubo naye atongozza kkampeyini, ayambalidde Rwashande
Omubaka w’e Lwemiyaga, Thoedore Sekikubo naye atongozezza kampeyini ze mubutogole okuvuganya ku bendera y’ekibiina ki NRM ku kifo kino nawera okulaba nga yeddiza ekifo kino . Ono asekeredde munne bwe bali ku mbiranye Emmanuel Rwashande ngagamba nti tasobola kukiikirira bantu be Lwemiyaga nga n’ebiwandiiko bye byakiboggwe. Ssekikubo abadde aliko abapoliisi abamukuuma nganoonya akalulu mu bannakibiina.